Poliisi y'e Kayabwe ewadde alipoota ku kabenje ddekabusa akagudde ku lw'e Masaka mmotoka UBM 489B Toyota Hiance oluusi gye bayita Drone bw'etomeraganye ne Mercedez Benz nnamba UAM 445B nga zombi .
Poliisi etegeezezza nti owa Benz abadde agezaako okuyisa takisi gye biggweeredde ng'alemereddwa n'ayingirira owa Toyota Hiace ebaddemu abasaabaze 5 bonna ne bafiirawo.
Mu Benz namwo mubaddemu abantu 5 abaddusiddwa mu ddwaaliro nga biwalattaka.
Like
Comment
Share